Poliisi y’e Kakumiro etandiise okunoonyereza ku ngeri omutemu ali mu myaka 48 gye yalumbye ekyalo Rwamata mu Tawuni Kanso y’e Mpasana, natta abantu basatu (3) kyokka oluvanyuma naye yattiddwa.

Ekikolwa kyabaddewo ku Lwokutaano ekiro ku ssaawa nga 3 ez’ekiro.

Abattiddwa kuliko Kereb Ndyamuhajyi myaka 28, Devine Haijuka 1 ne Joan Rwangireho 4 kyokka omutemu azuuliddwa nti ye Emmanuel Kiiza.

Okunoonyereza kulaga nti omutemu ye Kiiza ng’abadde mutuuze ku kyalo Kyobu mu ggoombolola y’e Kisiita.

Okulumba ekyalo Rwamata okutt abantu basatu (3), ensonga temanyikiddwa mu kiseera kino.

Posiano Kibuuka, ssentebe w’ekyalo Rwamata agamba nti abatuuze webatuukidde okutaasa, ng’abantu 3 battiddwa emirambo giri mu kitaba kya musaayi, kwe kunoonya omutemu naye nattibwa.

Ate Julius Hakiza, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Albertine, agamba nti Poliisi etandiise okunoonyereza okuzuula lwaki Kiiza yasse abantu.

Hakiza era agamba nti emirambo gyasindikiddwa mu ddwaaliro ekkulu e Kakumiro, okwekebejjebwa.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=cOKOntZ9wFM