Okwekalakaasa kuli mu nsi yonna!
Ekibiina ky’obwannakyewa ekirondoola eddembe ly’obuntu ki Amnesty International kiwanjagidde bannansi mu ggwanga erya South Africa, okomya okwekalakaasa wabula okweyambisa abakulembeze, okutegeeza Gavumenti ensonga ezibanyigiriza.
Olunnaku olw’eggulo, abatuuze mu bitundu bye Tembisa okumpi n’ekibuga Johannesburg, baabadde mu kwekalakaasa nga bawakanya ebintu okweyongera okulinya.

Mu kwekalakaasa nga balekaanira waggulu, baanokoddeyo eky’amasanyalaze okweyongera okulinya ebbeeyi, ebintu by’awaka omuli emmere, buto ssaako n’ebirala.
Abekalakaasi bayokeza ebipiira mu nguudo, okuteeka amayinja mu kkubo, emiti ne balemesa abantu okutambula ssaako n’abasuubuzi okutambuza emirimu gyabwe.
Wabula mu ddukadduka wakati wa Poliisi n’abekalakaasi, abantu 4 battiddwa.
Okunoonyereza kulaga nti bonna baakubiddwa amasasi.
Wabula ekibiina ki Amnesty International, kiwanjagidde ekitongole ekya Poliisi okunoonyereza abenyigidde mu kutta abantu, bakangavulwe ssaako n’okusaba abekalakaasi okweyambisa abakulembeze ku nsonga ezibanyigiriza okusinga okudda mu kwekalakaasa.
Bbo bannansi mu kitundu ekyo, balemeddeko okudda ku nguudo okutuusa ng’ebbeeyi y’ebintu ekoleddwako nga kyongedde okunabuula ensimbi.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=U2cDHaKc6fo