Abasuubuzi mu ggwanga erya South Africa beyongedde okutema empenda ku ngeri y’okutangira abekalakaasi, okubba ebintu byabwe mu Shoprite.

Abamu ku bannansi mu bitundu bye KwaZulu-Natal ne Gauteng bali mu kwekalakaasa nga bawakanya ekya Jacob Zuma myaka 79 eyali omukulembeze w’eggwanga lyabwe okuva 2009 – 2018 okusibwa.

Mu kiseera kino abantu abasukka 120 bebattiddwa ate abasukka mu 2,000 bakwattiddwa ebitongole ebikuuma ddembe.

Ekiri e South Africa

Newankubadde Gavumenti yasuubiza okwongera amaggye ku nguudo, okutangira embeera okusajjuka, abekalakaasi bakyalemeddeko okutuusa nga Zuma ayimbuddwa.

Kati no, waliwo Ssemaduuka amanyikiddwa nga shoprite asobodde okuteekawo embeera okutangira abekalakaasa okubba ebintu byabwe.

Abakozi mu Ssemaduuka, basobodde okuyiwa butto ku miryango gyonna egiyingira munda era buli muntu agezaako okuyingira, tasobola kutambulira ku butto era bonna bagudde.

Bangi bakwattiddwa

Ababbi bakoze kyonna ekisoboka okuyingira mmunda okutwala ebintu wabula tewali amazeeko okutuusa Poliisi n’amaggye wegatuuse era abasukka 20 bakwattiddwa.

Vidiyo

Vidiyo

Kkooti ya Ssemateeka ekulemberwa Omulamuzi Sisi Virginia Khampepe yasalidde Zuma okusibwa emyezi 15 ng’emulanga okuyisa olugaayu mu kakiiko akanoonyereza ku balyake mu South Africa, akakulirwa Amyuka Ssaabalamuzi Raymond Zondo nga 29, omwezi oguwedde Ogwomukaaga, 2021.

Wabula Zuma wadde yabadde alemeddeko obutasibwa, yapondoose neyewaayo eri ekitongole eky’amakkomera, ekyatabudde bannansi.

Mu kwekalakaasa, bannansi batwala ebintu ebyenjawulo omuli okumenya amadduka ne batwala engoye, ssente, eby’okulya n’okunywa, okutwala ATM, okubba ebisolo omuli embizzi n’ebintu ebirala.

Kigambibwa, mu kiseera kino bannamaggye abasukka mu 2,000 bebali ku nguudo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/337064674593901