Kyaddaki Poliisi ekutte omusajja ku misango gy’okulumako okutu kw’omuvubuka David Muhumuza 17 lwa ssente UGX 200.
David Katugume myaka 28 nga mutuuze ku kyalo Kibaali mu ggoombolola y’e Miirya mu disitulikiti y’e Masindi yakwattiddwa.
Poliisi egamba nti 24, omwezi oguwedde Ogwomusanvu, Omuvubuka Muhumuza yalemwa, okusasula UGX 200 ebya firimu oluvanyuma lw’okulaba Rambo ng’alumbye abatujju, abenyigira mu kutta famire ye.
Embeera eyo, yaviirako Katugume okunyiiga kuba yali asolooza ssente mu kibanda era amangu ddala yalumako Muhumuza okutu, kwe kudduka era abadde aliira ku nsiko.
Muhumuza baamuddusa mu ddwaaliro nga yenna atonnya musaayi era okuva olwo, Katugume abadde anoonyezebwa.
Wabula Julius Hakiza, omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, agamba nti Katugume asangiddwa nga yekwese mu disitulikiti y’e Masindi era akwatiddwa, natwalibwa mu kitebe kya Poliisi e Masindi ku misango gy’okutuusa obulabe ku muntu.
Hakiza era agamba nti okunoonyereza kukyagenda mu maaso.
Ate abantu 5 basindikiddwa ku limanda ku misango gy’okusangibwa n’emmundu n’okugyeyambisa mu kubba mu ngeri emenya amateeka.
Abakwate basimbiddwa mu kkooti y’amaggye e Makindye ebadde ekubirizibwa Brigadier Robert Freeman Mugabe.
Bano kuliko Faizal Mutaawe nga mutuuze mu zzooni ya Karina e Namasuba, Makindye, Jonathan Drake Mawejje nga mutuuwe we Madirisa e Makindye, Teopista Mbabazi ne Ashraf Ssekulima Ssendawula nga bonna batuuze be Namagoma mu tawuni Kanso y’e Nsangi mu disitulikiti y’e Wakiso ssaako n’omuvubi Muhammad Balikoowa.
Okusinzira ku ludda oluwaabi, nga 15, Ogwomukaaga, 2022 ku ssaawa 4 ez’ekiro, ku kyalo Kiyanja mu Tawuni Kanso y’e Kyengera mu disitulikiti y’e Wakiso, abakwate benyigira mu kubba Peter Wahadatu Pikipiki ye namba UFJ 779M nga myufu nga yalimu akuuma ka Tulaaka, nga beyambisa emmundu ekika kya Sub Machine Gun-SMG, ey’ebitongole ebikuuma ddembe.
Okunoonyereza kulaga nti emmundu yabbibwa ku Asikaali bwe yali akuuma essundiro ly’amafuta Kyengera.
Wabula wadde abasibe begaanye emisango, bonna baziddwa ku limanda mu kkomera e Kitalya okutuusa nga 5, omwezi ogujja Ogwomwenda, 2022 ate Mbabazi azziddwa Luzira.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=CakqXIbAC5E