Maama akubye omulanga…

Poliisi y’e Nansana ekutte abantu 2 ku by’okutta omwana Bukenya Imran myaka 9, eyabula nga 9, omwezi oguwedde Ogwomusanvu, 2022.

Poliisi egamba nti yafuna amawulire g’omwana okubula era okuva nga 9, omwezi oguwedde, abatuuze ne Poliisi, babadde kumuyigo.

Wabula akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, Poliisi yafunye amawulire nti abatuuze bagudde ku mulambo gw’omwana nga guseyeeya mu kinnya ky’akazambi eky’omutuuze Semaganyi Eria.

Omulambo gwagiddwaayo ne gutwalibwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago kyokka mu kinnya mwasangiddwamu ekidomola kya Liita 20 era kigambibwa, bayiwamu amafuta, okutangira omulambo okuwunya.

Wakati mu kulukusa amaziga, maama agamba nti omwana yabula nga 9, omwezi oguwedde Ogwomusanvu, bwe yali agenze mu ddwaaliro ekkulu e Mulago, okuzaala omwana owokubiri.

Mu kunoonyereza, Poliisi ekutte abantu 2 okuli Ssemaganyi Eria ne Ssalongo Bweseri era bonna basindikiddwa ku Poliisi y’e Nansana, okuyambako mu kunoonyereza.

Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, ayogeddeko naffe ku nsonga ezo era agamba nti balina okunoonya okutuusa nga Poliisi ekutte abatemu abenyigira mu kutta omwana.

Ate abatemu abatamanyiddwa basse omutuuze ne batwala omukono gwa ddyo ku kyalo Rwamata mu ggoombolola y’e Mpasana mu disitulikiti y’e Kakumiro, ekirese abatuuze nga bali mu kutya.

Omutuuze Didas Tumwine abadde mu gy’obukulu 60 yattiddwa yattiddwa mu kiro kya Ssande nga 31, Ogwomusanvu, 2022.

Okusinzira ku batuuze, abatemu bayingiridde amaka g’omugenzi ku ssaawa nga 6 ez’ekiro, ne bamutematema ku mutwe, obulago ne mikono, oluvanyuma ne batwala omukono gwa ddyo.

Mutabani w’omugenzi Nicholas Muhanguzi agamba nti kitaawe abadde asula yekka mu nnyumba era olwawulidde emiranga, bageenze okutuuka nga ze mbuyaga ezikunta, abatemu bamaze okumutta.

Omutabani awanjagidde ekitongole ekya Poliisi okunoonyereza, okuzuula abatemu abenyigidde mu kutta kitaawe n’okutwala omukono.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, Julius Hakiza, agumizza abatuuze ku by’okunoonyereza, kwe kusaba buli muntu alina amawulire, okwesiga Poliisi, okuzuula abatemu n’okuzuula Omukono.

Ate abatuuze wakati mu kutya, basabye Poliisi okwongera obukuumi ku kyalo kyabwe n’okusingira ddala obudde bw’ekiro.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=PqUnMgGsfcA