Omukyala aswadde mu maaso ga bba, bw’akwattiddwa lubona ng’ali mu kaboozi ne muganzi we, mu kikolwa ekimanyiddwa nga obwenzi.
Omukyala ono ali mu myaka 30 era kigambibwa abadde ali mu luwumula.
Omusajja amukutte ali mu kikolwa n’omusajja omulala mu kisenge kyabwe, mu kibuga Nairobi mu ggwanga erya Kenya.
Abamu ku batuuze bagamba nti omusajja ye Paul, omukyala amanyikiddwa nga Janet ate omusiguze Fred mbu akola n’omukyala ku mulimu.

Janet bamukwattidde mu bwenzi

Paul ne Janet balina abaana babiri era kigambibwa, omukyala abadde asukkiridde okwebuzabuza mu nsonga z’omu kisenge mbu akomawo akooye nnyo nga yetaaga okuwumula.
Paul era agamba nti wadde mukyala we abadde amwagala nnyo, amugobye mu makaage.
Agamba nti abadde afuna amawulire nti Janet aleeta omusajja mu nnyumba era y’emu ku nsonga lwaki yafuna abantu ku kyalo, okumutambulirako.

Aba famire y’omukyala nga basobneddwa


Paul yafunye essimu nti Janet aleese omusajja mu nnyumba era amangu ddala, kwe kuyita famire y’omukyala okwekeneenya ebikolwa bya muganda waabwe.
Ng’omusajja omulala yenna nga mukoowu, Paul yakubye mukyala we ebifaananyi, okufuna obujjulizi n’okubitambuza ku mikuttu migatta bantu.

Wadde Fred yasobodde okudduka, Paul asabye Janet okumuviira mu makaage kuba akooye obwenzi.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=rJp6XBD4eEM&t=75s