Omukyala Zari Hassan akaabye olw’essanyu, omulenzi omuto ali mu gy’obukulu 25 bw’amuwadde ekirabo.

Zari myaka 41, mukyala muzadde, alina abaana 5, nga 3 yabazaala mu Ivan Ssemwanga kati omugenzi ate omuyimbi Nasibu Abdul Juma Mwakasonda amanyikiddwa nga Diamond Platnumz, yamuzaalira abaana babiri bokka.

Zari wadde munnayuganda, asinga kuwangalira mu ggwanga erya Tanzania era agamba nti mukyala akola emirimu egy’enjawulo.

Zari yekuumidde ku mulembe

Mu kiseera kino, y’omu ku bakyala, abalabika obulungi abali mu butaala era alina abagoberezi bangi ku mikutu migatta bantu omuli Instagram, Facebook n’emirala.

Zari asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram, okulaga essanyu lye okuva eri omulenzi omuto.

Agamba nti bwe yabadde asemberedde okusiibula okuva mu hotero e Nairobi mu ggwanga erya Kenya, yafunye amawulire nti waliwo omuntu eyabadde amwagala nti yabadde alina ekirabo kye.

Zari yawadde omulenzi omukisa

Ng’omuntu omulala yenna, Zari naye yakkiriza kyokka yafunye ku ssanyu olw’omulenzi omuto okuwa ekifaananyi kya nnyina Halima Hassan ekisiige.

Maama wa Zari, Halima Hassan yafa mu July, 2017 mu ddwaaliro e Nakasero mu Kampala.

Yamuwadde ekifaananyi kya nnyina kati omugenzi

Ku Instagram, Zari asobodde okulaga essanyu lye, “As we walked out of the hotel in Nairobi someone mentioned there is someone to surprise me….Very skeptical I’m not that kind of a person who loves surprises but i was like ok… Looking like a kid expecting candy or flowers, @jonewa__ slowly and carefully opened a frame that seemed like a portrait, well it was. It was my mother’s portrait😢I lost it, was so touched, so many emotions ran, I couldn’t help it. I literally cried. Thank you for touching my life in a different way, you are amazing….

Not forgetting the artist who handed me my son @princenillan portrait in the club. I love you back….Nee calls it his ‘favorite photo of all time’. Thank you, we appreciate you“.

Afunye amaziga g’essanyu

Ebigambo bye byonna, biraga nti yasiimye ekifaananyi ky’omulenzi

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=D7x_F66r7WY&t=112s