Omubbi awonye emiggo..

Poliisi mu Kampala ekutte abantu 6 abaludde nga benyigira mu kubba Pikipiki mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo.

Mu kikwekweeto ekikoleddwa okumala ennaku 2 okuva ku Lwokusatu okutuusa akawungeezi k’olunnaku Olw’eggulo ku Lwokuna, e Nsangi mu disitulikiti y’e Wakiso, Poliisi esobodde okuzuula Pikipiki ez’enjawulo.

Pikipiki zizuuliddwa

Mu kusooka, Poliisi yakutte Muyingo Brian myaka 26, omutuuze mu zzooni y’e Kinaawa mu Tawuni Kanso y’e Kyengera, era yasangiddwa ne Pikipiki ekika kya Bajaj namba UEY 444Y.

Mu kwekebejja amakaage, Poliisi yazudde Pikipiki endala, Bajaj namba UFC 521M n’okuzuula ‘number plates’ enjigirire okuli namba UEY 649Y ne UED 711X nga zonna zirina ebiwandiiko ebijingirire.

Muyingo Brian akwatiddwa

Mu kunoonyereza, Poliisi yakutte abantu abalala nga batuuze b’e Kinawa, Kalerwe, Buddo ne Kasenge abaludde nga benyigira mu kubba Pikipiki.

Amangu ddala nga bakwatiddwa, Poliizi ezudde Pikipiki mukaaga (6) enzibe okuli UES 229U, UFF 624V, UEY 444 Y, UFC 521M, UFD 864A ne UFB 113W.

Omubbi bamukutte ne Number Plates ez’enjawulo

Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, abakwate batwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Nsangi ku misango gy’obubbi.

Owoyesigyire era agamba nti Poliisi eri mu kunoonya banaabwe bonna bakwatibwe n’okuzuula, bannanyini Pikipiki ezizuuliddwa.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=YamQMJsSen4