Kyaddaki omuyimbi Gereson Wabuyi amanyikiddwa nga Gravity Omutujju yetonze era asabye abakyala okusonyiyibwa.
Olunnaku olw’eggulo, Gravity bwe yabadde ayogerako eri bannamawulire ku mukutu ogumu, yavuddeyo ku bigambo by’abasajja okukuba abakyala.
Gravity yawagidde eky’abasajja okukuba abakyala mu kiseera nga bannayuganda bakyebuuza ekya Weasel Manizo okukuba mukyala we Sandra Teta.
Munsonyiwe!
Gravity Omutujju wadde y’omu ku bannayuganda abakwatiridde ekisaawe ky’okuyimba olw’ennyimba ze omuli Tusimbudde, Big Boys, Nyabo, Embuzi Zakutude, Winner, Ayi Ayi, Ampalana n’endala, ng’omuntu omulala yenna, akkiriza nti yakoze ensobi.

Okuva olunnaku olw’eggulo, abantu ab’enjawulo bamwambalidde ku mikutu migatta bantu omuli Twitter, Face Book n’endala nga bewunya Gravity omuyimbi waabwe ate okuvaayo okuwagira eky’okukuba abakyala.
Akawungeezi ka leero, Gravity avuddeyo era asabye abakyala bonna mu ggwanga okusonyiyibwa.
Agamba nti ebigambo byabadde bya kusaaga kuba tayinza kuwagira kutwalira mateeka mu ngalo okudda ku mukyala okukuba.

Mungeri y’emu agamba nti awa ekitonde ekikyala ekitiibwa era bukya azaalibwa, talina mukyala yenna gwe yali akubye.
Gravity era agamba nti awa abakazi ekitiibwa era yenna gwe kyayisizza obubi asabye okusonyiyibwa.
Lwaki yetonda!
Mu bulamu, abantu bakola ensobi ne Gravity yakoze ensobi mu bigambo bye era okuvaayo okwetonda, kabonero akalaga nti akitegedde nti yakoze ensobi
Vidiyo!
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=fzHjLacReGA