Poliisi y’e Bulenga ekutte  omuvubuka Byamukama Brian ow’emyaka  23, ng’ono abatuuze be Bulenga Kikaaya bamukutte lubona ng’aliko abaana basatu baasobezzaako ekirindi.

Abaana kuliko omu myaka 5 n’abalala myaka 6.

Omuvubuka Byamukama nga mutuuze we Kikaaya, kigambibwa, abadde yeyambisa vidiyo z’obuseegu okulaga abaana, oluvanyuma kwe kubasobyako enfunda ez’enjawulo.

Olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri, Byamukama yakwatiddwa lubona ng’aliko omwana gwe yabadde asobyako mu nnyumba ya jjajjaabwe nga bali mu ntebe.

Abatuuze oluvanyuma baatemeza ku ssentebe w’ekyalo Moses Katumba, eyakubidde Poliisi essimu.

Ssentebe Katumba avumiridde ekya Byamukama okusobya ku baana abasatu kirindi, kwe kusaba Poliisi, okunoonyereza obulungi, abaana okufuna obwenkanya.

Ku Poliisi, Byamukama akkiriza nti emisango okusobya ku baana, era agamba nti abaana, bebamuyise mu nnyumba.

Omuvubuka Byamukama agamba nti abaana oluvanyuma lw’okulaba akazannyo, yayitiddwa era okutuuka mu nnyumba, omu ku baana yatudde ku bisambi bye, ekyavuddeko okumusobyako.

Ku Poliisi, agamba nti wadde abadde yakasobya ku baana abasatu (3), asabye Poliisi ekisonyiwo.

Byamukama asobeza ku baana

Ate abatuuze b’e Kikaaya, bagamba nti Byamukama okusobya ku baana abato, alina kuwanikibwa ku kalabba oba okumusiba okufiira mu kkomera.

Amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, agamba nti okunoonyereza kutandiise.

Owoyesigyire agamba nti balina okutwala abaana mu ddwaaliro, okufuna alipoota z’abasawo okuzuula ekituufu oba ddala Byamukama yabasobyako.

Mungeri y’emu asabye abatuuze okuyambagana ne Poliisi okutangira abantu nga Byamukama abali mu kitundu.

Eddoboozi lya Luke

Vidiyo!

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=RMXDUvy9vnw