Mu kisaawe e Nabweru…
Entekateeka ziwedde, omuyimbi Little Joe Mpologoma okulaga nti ddala alina talenti.
Little Joe akola ebintu eby’enjawulo omuli okuyimba, okuzannya katemba ate muweereza ku laadiyo y’abazinnyi 100.2 Galaxy FM Zzina mu pulogulaamu ya Evening Rush ng’ali ne DJ Nimrod ssaako ne Prim.
Little Joe nga yeeyita Ghetto Adviser alina ekivvulu ku Lwomukaaga nga 5, November, 2022 ekituumiddwa ‘Babwooya Tuula Gatukube’ e Nabweru mu kisaawe.
Ku mulundi guno, Little Joe awerekedwako abayimbi ne bannakatemba ab’enjawulo era okuyingira ssente 10,000 ate VIP 100,000.

Abamu ku bayimbi abali mu kweteekateeka okuyimbirako Little Joe mwe muli Hassan Ndugga, Tumusiime Catherine amanyikiddwa nga Kapa Cat, Spice Daina, ba DJ ba Galaxy FM bonna, Gravity Omutujju n’abalala bangi nnyo.
Little Joe Mpologoma alina ennyimba ez’enjawulo omuli Kirimanyi, Maama Kalimunda, Kabejja Wange, Bamweyana ng’ali ne Gentle mulindwa Nagamanage, Kili City, Mbeera Naye n’endala.
Okwawukanako n’abayimbi abalala, Little Joe agamba nti ekivvulu kigenda kutambulira ku buwangwa n’Ennono.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=yix8dFWIPSU