Amaziga gakuluse mwana muwala Kafta Queen, omulamuzi bw’amusindise ku kkomera okumala ebbanga lya myaka 3.
Kafta Queen y’omu ku bawala abaali mu katambi, nga bakuba muwala munaabwe Pretty Nicole emiggo ssaako n’okumuyiira amazzi.

Mu butambi, obwaali butambula ku mikutu migatta bantu, ku ntandikwa y’omwezi guno ogwa Janwali, Nicole yakubwa emiggo, okumuyiira amazzi wabula yasobola okudduka mu ngeri y’okutaasa obulamu.
Mu kkooti, Kafta Queen abadde ku misango gy’okutulugunya omuntu ekisukkiridde.

Wabula mu maaso g’omulamuzi wa kkooti esookerwako e Kira, Nsenge Roseline, Kafta Queen asibiddwa emyaka 3 mu kkomera e Luzira.
Okumusiba emyaka 3 ng’omwana Pretty Nicole gwe yakuba ng’ali ne banne, mu kkooti abaddemu, okwekeneenya ensonga zonna.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=jBFagyQtn2k
Bya Nakaayi Rashidah