Omulamuzi wa Kkooti esookerwako e Masaka Abdallah Kayiza asindise Edward Ssebuufu amanyiddwa nga Eddie Mutwe akulira eby’okwerinda bya Pulezidenti wa National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu mu kkomera e Masaka okutuusa nga 25, May, 2025.
Eddie Mutwe ku Kkooti yatuusiddwaayo mu bukuumi obw’ekitalo era nga ab’amawulire balemeseddwa okukwata ebifaananyi wabula ebimu ku bifaananyi ebyalabiddwako nga biraga nti ali mu mbeera mbi kuba yabadde akubiddwa nnyo.
Yaleeteddwa ku kkooti abantu nga bali mu ngoye eza bulijjo.
Eddie Mutwe abadde yakamala mu buwambe wiiki emu era yawambibwa okuva mu bitundu bye Mukono.
Okusinzira mu Magellan Kazibwe – munnamateeka wa Eddie Mutwe, Eddi Mutwe, aguddwako emisango gye gimu, egyagulwa ku Achilleo Kivumbi, Grace Wakabi amanyikiddwa nga Smart-wa Bobi ne Gadafi Mugumya, abasooka okukwatibwa ne basindikibwa mu kkooti enkulu e Masaka ku misango omuli
– Okubba ssente emitwalo 20
– Okubba esweta ya munnamawulire Margret Kayondo
– Okubba amassimu ebalibwamu 730,000
– Okutuusa obulabe ku bantu okuli bannamawulire Zainab Namusaazi ne boonona kkamera ye ebalibwamu (1.5M), ssaako n’okubatisatiisa.
Bino byona, byaliwo mu disitulikiti y’e Lwengo, 8, May, 2024 ku kyalo Manja mu ggoombolola y’e Kisekka.
Munnamateeka Kazibwe agamba nti basabye omulamuzi Kayiza, akkirize Eddie atwalibwe mu ddwaaliro kuba embeera gy’alimu mbi ng’abadde akubwa emirundi 4 olunnaku – https://www.youtube.com/watch?v=F8LPleFqdJg&t=438s