Bannakibiina ki National Resistance Movement (NRM) balangiridde, tewali muntu yenna agenda kuvuganya ssentebe w’ekibiina kyabwe Yoweri Kaguta Museveni, mu kunoonya ani, agenda okulemberamu ekibiina mu kulonda kwa 2026 ku bwa Pulezidenti.

Okusinzira ku ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda mu kibiina ki NRM Dr Tanga Odoi, aba NRM nga bayita mu kakiiko k’ekibiina ak’oku ntikko aka Central Executive Committee (CEC), bakaanya mu 2019, Yoweri Museveni okulemberamu ekibiina, okuva 2021, okutuusa lwalikoowa oba okutuusa lwalifa.

Dr. Tang Odio

Dr. Tang Odio, agamba nti okuteeka mu nkola okusalawo kw’ekibiina, kabonero akalaga nti dimokulasiya mu kibiina yeyongedde.

Mu kulonda kwa 2021, Museveni yavuganya n’abantu 10 abalala kyokka yasobola okuddamu okuwangula.

Yafuna obululu 6,042,898 (58.38).

Robert Kyagulanyi Ssentamu owa National Unity Platform (NUP) yakwata kyakubiri (2) n’obululu 3,631,437 (35.08).

Aba NRM bagamba Museveni akyakola bulungi ate abantu bamwagala nga y’emu ku nsonga lwaki agwanidde okuddamu okukwata kaadi y’ekibiina – https://www.youtube.com/watch?v=BrW-WutBAgE