Ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino, Yoweri Kaguta Museveni, asobodde okusisinkana abasomesa, aba Arts, abegattira mu kibiina ekya ‘Uganda Professional Humanities Teachers Union’ era bakaanyiza okudda ku mirimu gyabwe.

Abasomesa mu State House

Abasomesa, baludde nga bali mu kwekalakaasa nga bagaana okudda mu kibiina, okutuusa n’abo bayongezeddwa emisaala nga bwe kiri ku basomesa aba Sciences.

Wabula Muzeeyi Museveni ne kabiite we era Minisita w’ebyenjigiriza Kataaha Museveni, basobodde okusisinkana mu State House ne bakaanya baddeyo ku mirimu.

Yoweri Kaguta Museveni ne Kataaha Museveni

Museveni agamba nti basobola okutongoza enkola nga bwe kiri maggye omuli

– Okuzimbira abasomesa amayumba

– Abaana baabwe okusomesa obwereere nga bbo bazaala buzaazi

– N’okubongeza omusaala mu bitundutundu ebitundu 25 ku buli 100.

Museveni, agamba nti bakaanyiza n’abasomesa okudda mu kibiina enkya ya leero era basabiddwa okusosowaza enkolanaga ne Gavumenti okusinga okudda mu kwekalakaasa – https://www.youtube.com/watch?v=F8LPleFqdJg&t=321s