Eyali addumira akabinja ka Special Investigations Unit (SIU), SSP Nixon Agasirwe Karuhanga enkya ya leero, akomezebwawo mu kkooti ku misango gy’okutta eyali omuwaabi wa government Joan Kagezi Namazzi mu 2015.

Mu kkooti y’omulamuzi asookerwako e Nakawa, Esther Nyadoi, oludda oluwaabi, lukulembeddwamu Richard Birivumbuka ne Joseph Kyomuhendo mu maaso g’omulamuzi wa kkooti esookerwako e Nakawa, Esther Nyadoi.

Okunoonyereza kulaga nti nga 30, March, 2015 e Kiwatule mu Nakawa, Kampala, Agasirwe ne banne abakyaliira ku nsiko, benyigira mu kutta Kagezi  nga yakubwa amasasi.

Mu kkooti e Nakawa, ali ku misango gya naggomola ng’alina kulinda kusindikibwa mu kkooti enkulu mu Kampala okwewozaako.

Amyuka omwogezi wa DPP, Irene Nakimbugwe agamba nti okukwata Agasirwe oluvanyuma lw’emyaka 10, kabonero akalaga nti basemberedde okufuna obwenkanya.

Agasirwe, kati avunaanibwa n’eyali Special Police Constable (SPC) Flying Squad Unit, Ssemujju Abdulnoor amanyikiddwa nga Minana.

Minana yakwatibwako mu 2017 ku by’okutta Joan Kagezi kyokka oluvanyuma nateebwa.

Wabula oluvanyuma lw’okuddamu okunoonyereza, Minana yazzeemu nakwatibwa okuva mu makaage ku kyalo Nakyesa mu ggoombolola y’e  Galilaya e Kayunga.

Bwe yali asiimbiddwa mu kkooti nga 24, June, 2025, Minana yasaba eyali saabaduumizi wa poliisi Gen Kale Kayihura okuvaayo okuyingira mu nsonga ze kuba agamba nti talina musango.

Minana yasindikibwa mu kkooti omulamuzi wa kkooti esookerwako e Nakawa, Daphine Ayabare okutuusa enkya ya leero nga 8, July, 2025.

Minana

Abalala abali ku misango okuli John Kibuuka, John Masajjagge ne Nasur Abudallah Mugonole, batuuka dda mu kkooti enkulu mu Kampala okwewozaako – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=25s

Ekifaananyi kya ‘The Observer’