Okuwulira emisango gyonna egivunaanibwa abantu 4 abakwatibwa ku by’okutta eyali omuwaabi wa Gavumenti Joan Namazzi Kagezi nga March 30, 2015 kulinze kuwulirwa.

Yattibwa bwe yali adda mu makaage e Kiwatule Nakwa mu Kampala.

Enkya ya leero,  amyuka ssaabawaabi wa Gavumenti Thomas Jatiko asabye omulamuzi wa kkooti e Nakawa Elias Kakooza, abakwate bonna 4 basindikibwe mu kkooti enkulu ewozesa emisango gya bakalintalo.

Omugenzi Kagezi

Abakwate 4 kuliko Daniel Kisekka  nga mwoki w’amanda  asangibwa Nsanvu e Kayunga, John  Kibuuka, Nasur Abudallah Mugonole ne John  Musajagge nga ono ali mu kkomera e Kitalya nga bali ku misango gy’obutemu n’okulya mu nsi olukwe.

Jatiko agamba nti mu kkooti, bagenda kwesigama ku bujjulizi bwokka, obufuniddwa wakati mu kunoonyereza.

Bano, kati balinze kkooti enkulu ewozesa emisango gya bakalintalo, okuteekawo olunnaku okutandiika okwewozaako.

Kinajjukirwa nti nga 6, November, 2024, baasimbibwa mu kkooti ne baggulwako emisango gy’okutta Joan Kagezi.

Kagezi weyattirwa y’eyali akulembeddemu oludda oluwaabi mu misango gy’obutujju egyali givunaanibwa abantu 14 nga bano basingisibwa dda emisango gy’okutega bbamu mu Kampala mu 2010.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=ZCCJRJUwEBM