Kkooti e Nakawa eriko abantu 4 abasindikiddwa ku limanda ku misango gy’okutta eyali amyuka Ssaabawaabi wa Gavumenti Joan Namazzi Kagezi.

Abaguddwako emisango kuliko

Daniel Kisekka Kiwanuka nga musajja mulimi, mwoki w’amanda nga mutuuze we Nsanvu mu Tawuni Kanso y’e Kitimbwa mu disitulikiti y’e Kayunga.

John Kibuuka amanyikiddwa nga Musa, abadde omusibe mu kkomera e Kigo

Nasur Abdallah Mugongole nga naye musibe mu kkomea e Kitalya e Mityana

John Masajjage amanyikiddwa nga Mubiru Brian oba Badru oba Chongo

Batuusiddwa ku kkooti wakati mu byokwerinda nga bakuumibwa Poliisi erwanyisa obutujju.

Wadde kkooti ebadde ekubyeko abawaabi ba kkooti abasukka 30 nga ne famire erina abantu 3, amyuka ssaabawaabi wa Gavumenti Thomas Jatiko n’omuwaabi wa kkooti Lillian Omara Alum, bebakkiriziddwa okugenda mu maaso n’omusango.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, nga 30, March, 2015, abakwate ne banaabwe abakyaliira ku nsiko, batta Kagezi nga yakubwa amasasi e Kiwatule, Nakawa mu Kampala, okuteeka okutya mu bantu ne Gavumenti.

Olw’emisango gyabwe omuli obutujju n’obutemu nga n’omulamuzi wa kkooti esookerwako e Nakawa Erias Kakooza, talina buyinza okuwuliriza emisango bwegityo, bonna abakwate baziddwa ku limanda okutuusa nga 20, November, 2023 ng’okunoonyereza kukyagenda mu maaso.

Abakwate basimbiddwa mu kkooti nga tebalina munnamateeka yenna.

Wabula amyuka omwogezi wa offiisi y’omuwaabi wa Gavumenti Irene Nakimbugwe, agamba nti abakwate baaliko mu kkomera ku misango gy’okubbisa eryanyi n’obutujju.

Kinnajjukirwa nti 30, March, 2015 ku ssaawa 1:30 ez’akawungeezi, Kagezi yali avuga emmotoka ya ekika kya Ford double-cabin pick up nga yaliko ennamba za Gavumenti kyokka nga talina mukuumi yenna, yayimirira ebbali w’ekkubo okugula ku bibala e Kiwaatule.

Omugenzi Kagezi

Mu mmotoka, yalimu n’abaana be basatu (3), abawala 2 n’omulenzi 1.

Omuwala omu yava mu mmotoka okuleeta ebintu kyokka abaana abalala ne basigala mu mmotoka.

Mu kiseera nga balinda omuwala okudda mu mmotoka, waliwo omusajja eyatuuka ku mmotoka ku luggi lwa ddereeva, Kagezi kwe yali atudde era Kagezi yassa eddirisa okulaba omusajja era amangu ddala yamukuba amasasi 2 mu bulago.

Amangu ddala omusajja yalinya Pikipiki ne badduka.

Wadde begezaako okumudduka mu ddwaaliro ekkulu e Mulago, kigambibwa yafiira mu kkubo.

Ku myaka 47, yali mutuuze we Najjera.

Ng’omuwaabi wa Gavumenti, yali misango eminene omuli

– Omusango gw’omugenzi Aggrey Kiyingi ku by’okutta mukyala we munnamateeka Robinah Kasirye Kiyingi mu July, 2005, eyakubwa amasasi ebweru w’amaka gaabwe e Buziga.

– Emisango gya Akbar Hussein Godi, eby’okutta mukyala we Rehema Caesar Godi myaka 19 nga 4, Desemba, 2008 e Mukono. Mu Febwali, 2011, Godi yasalibwa okusibwa emyaka 25.

– Emisango gy’omusuubuzi w’omu Kampala Thomas Nkulungira eyali amanyikiddwa nga Tonku, eby’okutta eyali muganzi we wakati wa 21, Desemba ne 30, Desemba, 2010. Omulambo gw’omukyala gwazuulibwa mu kinnya kya kazambi mu maka ga Nkulungira e Muyenga nga 12, August, 2011, Tonku yasalibwa okuttibwa.

– Yali musango gwa Thomas Kwoyelo, omuyekera wa Lord’s Resistance Army ku misango gy’okuwaamba, obutemu, okusobya ku bakyala, okutyoboola eddembe ly’obuntu.

Kwoyelo yagibwako emisango oluvanyuma lw’okusaba ekisonyiwo. Nga 8, April, 2015, kkooti ensukkulumu yasazaamu ekisonyiwo era omusango ne baguzaayo mu kkooti enkulu okuddamu okuwulirwa.

Kagezi okuttibwa, yali musango gw’abantu 13 abaali bakwatibwa ku by’okutega bbomu mu Kampala mu July, 2010 ku fayino za World Cup omwafiira abantu 79.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=F7ondFqDUNg