Bannamateeka ba Dr Kizza Besigye ne munne Hajji Obeid Lutale, bazzeeyo mu kkooti enkulu mu Kampala, okusabira abantu okweyimirirwa.
Besigye ali ku misango gy’okulya mu nsi olukwe n’okumanya ku misango egyo ne basirika ng’ali ne Hajji Obeid Lutale, ssaako munnamaggye Capt Dennis Oola.
Besigye ne munne, bali ku limanda mu kkomera e Luzira okuva nga 20, November, 2024, lwe yasindikibwayo kkooti y’amaggye.
Wabula bannamateeka be, nga bakulembeddwamu omuloodi Ssalongo Erias Lukwago, bazzeeyo mu kkooti enkulu mu Kampala, okuddamu okusaba okweyimirirwa.
Lukwago, agamba nti newankubadde bazzeeyo mu kkooti enkulu, kikafuuwe omulamuzi Emmanuel Baguma, okusigala musango gwabwe.
Bagamba nti ebikolwa, by’omulamuzi Baguma, bityoboola eddembe ly’abasibe n’okuvvoola sseemateeka era mu kkooti, bawadde ensonga 4 enkulu.
Wabula n’omulamuzi Baguma alemeddeko, ataddewo nga 9, October, 2025, Besigye ne Lutale, okumutegeeza lwaki balemeddeko, ave misango gyabwe ate nga 1, October, 2025, basuubirwa okudda mu kkooti, okulaba nti emisango gyabwe, gitandiika okuwulirwa – https://www.youtube.com/watch?v=_KIssLpgC-s