Munnakibiina ki National Unity Platform (NUP), Doreen Kaija omuwagizi wa Bobi Wine asindikiddwa ku limanda mu kkomera e Luzira

Doreen Kaija myaka 27, nga yakulira ebbanguliro ly’abakulembeze ba NUP e Kamwokya yakwatiddwa okuva mu makaage e Kinawataka-Mbuya Nakawa ku wikende era mu kkooti e Kanyanya, aguddwako emisango omuli
– Okusomesa n’okulembera ettendekero ly’ebyobufuzi mu ngeri emenya amateeka, nga tebalina lukusa libakkiriza kusomesa
– N’okukola dduyiro w’ebitongole byokwerinda mu ngeri emenya amateeka ne bakola Paleedi mu ngeri emenya amateeka, nga 12, February, 2025, webaali bajjaguza amazaalibwa ga Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ag’emyaka 42.

Mu maaso g’omulamuzi Damalie Agumaasiimwe, Kaija yegaanye emisango gyonna.
Kaija agatiddwa ku bantu 9, abali ku limanda mu kkomera e Luzira era ku misango gy’okukola dduyiro mu ngeri emenya amateeka omuli
– Amyuka omwogezi w’ekibiina ki NUP – Alex Waiswa Mufumbiro
– Sauda Madaada
– Edward Ssebuufu amanyikiddwa nga Eddie Mutwe
– Achileo Kivumbi
– Tasi Calvin amanyikiddwa nga Bobi Giant
– Sserunkuma Edwin amanyikidda nga Eddie King Kabenja
– Lukenge Sharif
– Nyanzi Yassin
– Kaweesi Tonny

Kaija, naye wakudda mu kkooti nga 29, September, 2025 ku lunnaku, omulamuzi lw’agenda okuwulira okusaba kwe okweyimirirwa.

Mu kkooti, Kaija, akiikiriddwa bannamateeka nga bakulembeddwamu Paul Kenneth Kakande – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=249s