Kyaddaki akakiiko k’ebyokulonda mu ggwanga, kawadde ekibiina ki National Unity Platform (NUP) satifikeeti eraga nti batuukiriza ebisanyizo, Pulezidenti w’ekibiina kyabwe Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) okwesimbawo, ku bukulembeze bw’eggwanga lino mu kulonda kwa 2026.

Ku satifikeeti, kugiddeko ebbaluwa eraga nti Kyagulanyi wadde yali yasaba okusunsulwa olunnaku olw’enkya ku Lwokubiri nga 23, September, 2025, agenda kusunsulwa ku lwa 24, ku Lwokusatu.

Mungeri y’emu ebbaluwa eraze nti wadde yali yasaba, asunsulwe obudde obw’okumakya, alagiddwa nti wakusunsulwa ku ssaawa 8 ez’emisana.

Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe kye kibiina, Ssaabawandiisi w’ekibiina ki NUP David Lewis Rubongoya, agamba nti bino byonna bikoleddwa, okwagala okulemesa Kyagulanyi, okwogerako eri abawagizi be.

Rubongoya agamba nti Kyagulanyi, yali yatekateeka, okwogerako eri abawagizi be, olunnaku olw’enkya ku Lwokubiri ku kisaawe e Katwe ku ssaawa 6 ez’emisana ate ku ssaawa 10:30 e Nateete wabula akakiiko k’ebyokulonda okuwa Kyagulanyi ssaawa 8 ez’emisana, tekigenda kubalemesa.

Agamba nti webaali bapangisa ebifo n’okutegeeza Poliisi, basaba ennaku 2, okwerinda ebiyinza okudirira era basabye akakiiko k’ebyokulonda okwewala okwemoola mu maaso ga Kyagulanyi, okulya obudde bwe, okulemesa omuntu waabwe, okwogerako eri abawagizi be.

Mu kiseera kino, abakakasiddwa kuliko ssentebe w’ekibiina ki NRM Yoweri Kaguta Museveni, Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ne Nathan Nandala Mafabi, akulembeddemu FDC ku bwa Pulezidenti – https://www.youtube.com/watch?v=_KIssLpgC-s&t=8s