Sseggona n’abalala bakaaba….

Abamu ku bannakibiina ki National Unity Platform (NUP) bakyasobeddwa oluvanyuma lw’ekibiina, okufulumya ‘list’ y’abo, abagenda okulemberamu ekibiina ku bukaka bwa Palamenti nga tebafunye mukisa.

Abamu kw’abo, abaweereddwa kaadi kuliko

–  Omuyimbi Sir. Mathias WalukaggaBusiro East – okudda mu bigere bya Medard Lubega Sseggona.

– Sipiika w’olukiiko lwa KCCA, Zahra Luyirika Makindye West – Okudda mu bigere bya Allan Ssewanyana

Shamim Malende – asigadde mu Kampala ng’omubaka omukyala.

Fred Nyanzi SsentamuKawempe South – Okudda mu bigere bya Kazibwe Bashir Mbaziira gwe bagamba nti abadde yava dda mu kibiina.

– Ssaabawandiisi w’ekibiina ki NUP, David Lewis RubongoyaKampala Central

– Omusibe Alex Waiswa MufumbiroNakawa East – okudda mu bigere bya Ronald Balimwezo, eyagenze ku bwa Loodi meeya bwa Kampala.

Ali Kasirye Nganda MulyannyamaMakindye East – okudda mu bigere bya Derrick Nyeko

Kuteesa PatrickKimaanya Kabonera – okudda mu bigere bya Abed Bwanika owa Democratic Front.

Omumbejja Eugenia NassoloLubaga South – okudda mu bigere bya Aloysius Mukasa

Yusuf Kiruluuta NkerettanyiKalungu East – okudda mu bigere bya Katabaazi Francis Katongole

Lubowa Gyaviira SsebinaNyendo Mukungwe.

Ssebina asobodde okuwangula munnamateeka Sam Muyizzi ne Nanungi Alice.

Zambaali Blasio – Munisipaali ye Nansana – Okudda mu bigere bya Musoke Wakayima Nsereko.

Zambaali asobodde okumegga Mayanja Abraham amanyiddwa nga Big Eye

Mukisa Proscovia – Y’omubaka omukyala e Mityana – okudda mu bigere bya Joyce Bagala Ntwatwa, abadde mu kifo ekyo, emyaka 5 gyokka.

Pulezidenti w’ekibiina Robert Kyagulanyi Ssentamu bwe yabadde akwasibwa ‘List’ y’abawanguzi, aliko entanda gye yasibiridde abawanguzi ssaako n’abo abawanguddwa.

Agamba nti balina kulwana okutwala buyinza bwa ggwanga si kulwanira bwa Mps – https://www.youtube.com/watch?v=_XE3j-6N7yU&t=21s