Kyaddaki omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Emmanuel Baguma, awadde Dr Kizza Besigye omukisa, okuwa ensonga ze mu kkooti, lwaki awakanya eky’omulamuzi y’omu Baguma okusigala misango gye.
Wiiki ewedde, Omulamuzi Baguma yalagidde Besigye okuteeka ensonga ze mu buwandiike, ekintu kye yakoze wabula ate mu kkooti enkya ya leero, Omulamuzi y’omu Baguma era amukkiriza okuddamu ensonga ze mu bigambo.

Mu kkooti, Besigye aleese ttiimu ya bannamateeka okuli
– Martha Karua okuva e Kenya
– Munnamateeka Ssalongo Erias Lukwago
– Ernest Kalibbala
Ate oludda oluwaabi, lukulembeddwamu Richard Birivumbuka.

Mu kkooti, Besigye awadde ensonga eziwerako omuli
– Yakwatibwa ne munne Hajj Obeid Lutale mu ngeri emenya amateeka okuva mu ggwanga erya Kenya.
– Okubazza mu Uganda, kyakolebwa mu ngeri emenya amateeka.
– Nga batuuse mu Uganda babasiba okumala ennaku 4 nga tewali kubatwala mu kkooti mu ngeri emenya amateeka.
– Agamba nti Gavumenti yasalawo okubakuumira ku kkomera mu ngeri emenya amateeka oluvanyuma lw’okumala emyezi 6 ku limanda nga tebasindikiddwa mu kkooti enkulu okwewozaako.
– Agamba nti oluvanyuma lwa kkooti ensukkulumu okusazaamu ebyali bikolebwa kkooti y’amaggye, baali basuubira okubayimbula, ekitakolebwa.
– Besigye agamba nti emisango gyabwe, egy’okulya mu nsi olukwe, gyali gisindikiddwa mu kkooti enkulu, ewozesa bakalintalo, eya International Crimes Division, kyokka omulamuzi Baguma yagaana okugisindika mu kkooti entuufu ne gisigala mu Criminal Division Court.

– Agamba nti Omulamuzi Baguma, yalaga nti alina kyekubira webaali mu kkooti y’emu nga basaba okweyimirirwa era ensonga zaabwe ziri mu akakiiko akafuga essiga eddamuzi aka Judicial Service Commision.
– Kizza Besigye asigadde abuuza omulamuzi ekibuuzo nti olw’ensonga ezo, Omulamuzi Baguma anaasobola okumuwa amazima n’obwenkanya mu maaso ge.
Wabula Birivumbuka, awakanyiza byonna ebyogedde Besigye era agamba nti Besigye musajja mulimba nnyo.
Wadde byonna byogeddwa, omulamuzi wakuwa ensala ye wiiki ejja ku Lwokusatu nga 15, October, 2025 – https://www.youtube.com/watch?v=F8LPleFqdJg&t=324s