Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) akulembeddemu ekibiina ki National Unity Platform (NUP), alaze nti ku mulundi guno, agenda kutuusa mukyala we Barbie Itungo ku bwa First lady.
Kyagulanyi, agamba nti okutambula eggwanga, kyongedde okulaga nti bannayuganda bakoowu era 2026, bategese okufuna enkyukakyuka.
Agumizza ab’e Manafwa ku Uganda empya omuli
– Omutali kulya enguzi
– Omutali kutyoboola ddembe lya buntu
– Okutumbula eby’enjigiriza
– Eby’obulamu
– Okutumbula obwenkanya, singa bonna bavaayo, ne balonda ate ne balemesa abantu bonna, abayinza okukuuma akalulu kabwe.
Olunnaku olwaleero, Bobi Wine agenda Namisindwa ne Tororo.







Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=FINRwhYd-9Q