Poliisi etandiise entekateeka okulaba ng’omusawo Fred Kazungu, myaka 40, bamutwala mu kkooti, ku misango gy’okusobya ku mwana omuto, myaka 5 gyokka.
Fred Kazungu, nga musawo ku Mpumudde Health Centre IV mu kibuga Jinja, yasobodde okusendasenda, omwana omuto, era namusobyako.
Okunoonyereza kulaga nti Kazungu, yasobodde okutuma omwana eby’okulya omuli Yogati ssaako ne Bisikwiti, wiiki ewedde ku Lwokuna nga 16, October, 2025, namulagira abitwale mu nnyumba ye.
Omwana nga yakatuuka mu nnyumba, esangibwa mu kibangirizi kye ddwaliro, Kazungu, yamuzingiza era bwatyo namukozesa.
Wabula James Mubi, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kiira- Jinja, agamba nti Kazungu, wadde yabadde agezaako okudduka, yakwatiddwa era bamutwala mu kkooti essaawa yonna, ku misango gy’okusobya ku mwana omuto.
Mubi era asabye obubiiko bwonna, obukola ku nsonga z’abasawo okuvaayo ku nsonga y’omusawo Kazungu.
Agamba nti omusawo Kazungu tagwanidde kudda ku mirimu gye, alina okugibwako ebbaluwa y’obusawo mu bwangu ddala – https://www.youtube.com/watch?v=f7o1WhL9stc&t=5s