Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ayongedde okulaga nti mu Uganda, kisoboka okufuna enkyukakyuka mu kulonda kwa 2026.
Bobi Wine agamba nti balina buli kimu omuli amaanyi g’abantu, bakyali bavubuka bato, okuwangula okulonda.
Agamba nti singa akwata obukulembeze, agenda kukola kyonna ekisoboka, Uganda okukyuka mu bwangu omuli

  • Okulwanyisa enguzi
  • Okukola ku nguudo
  • Okuzimba amalwaliro
  • Okulwanyisa ebbula ly’emirimu n’ensonga endala.
    Olunnaku olw’eggulo, Bobi Wine yabadde mu bitundu bye Hoima ne Hoima City era yasobodde okusaba abantu, okuvaayo mu bungi okulonda.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=7B0Nyzeovkk