Ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni alaze nti omwaka 2026, talina kutya kwonna, agenda kuddamu okukwata obukulembeze.
Museveni olunnaku olw’eggulo yabadde mu bitundu bye Lamwo, Gulu ne mu kibuga Gulu.
Bwe yabadde ayogerako eri abalonzi mu bitundu byonna, Museveni yazzeemu okusuubiza eggwanga ku nsonga

  • Y’ebyokwerinda
  • Okutumbula ebyenfuna
  • Okutumbula eby’enjigiriza
  • Okulwanyisa ebbula ly’emirimu n’ensonga endala
    Museveni agamba nti singa akwata obuyinza, agenda kukola nnyo bannayuganda okweyongera okuteeka ssente mu nsawo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=7B0Nyzeovkk