Bannansi mu ggwanga erya Tanzania, bakedde kulonda Pulezidenti w’eggwanga, ababaka ba Palamenti ssaako ne Bakansala.
Agava mu ggwanga erya Tanzania, galaga nti Samia Suluhu Hassan, alina emikisa mingi nnyo okulya obwa Pulezidenti.
Okulonda temuli kuvuganya nnyo olwa Tundu Lissu, omukulembeze w’oludda oluvuganya mu kibiina kya CHADEMA, okukwatibwa era kati ali mu kkomera ku misango gy’okulya mu nsi olukwe.
Mungeri y’emu akakiiko k’ebyokulonda mu April, 2025, kagaana ekibiina ki CHADEMA okusimbawo omuntu yenna ku bwa Pulezidenti olw’ekibiina okugaana okuteeka omukono ku kiwandiiko okweyama okugoondera amateeka g’ebyokulonda gonna.
Mungeri y’emu akakiiko kagaana Luhaga Mpina, okuva mu kibiina eky’okubiri okuvuganya Gavumenti ekya ACT-Wazalendo okwesimbawo olw’ekiragiro kya ssaabawolereza Gavumenti.
Kati mu kiseera kino, bannansi balina abantu 17, okusalawo ani agwanidde obwa Pulezidenti bwa Tanzania okuli
- Samia Suluhu Hassan (CCM)
- Saum Rashid (UDP)
- Kunje Ngombale Mwiru (AAFP)
- Yustas Rwamugira (TLP)
- Wilson Mulumbe (ADC)
- Augustine Lyatonga Mrema (NLD)
- Hashim Rungwe Mapunda (CCK)
- John Momose Cheyo (MAKINI)
- Seif Hamad Magango (NRA)
- Paul Rupia (UPDP)
- Stephen Masato Ngulube (CUF)
- Joseph Musukuma Mbilinyi (TPP)
- Godfrey Zambi (MUNU)
- Leonard Samwela (NCCR-Mageuzi)
- Michael Ngaleku (PPT)
- Anna Mghanga (TaSiKwa)
- Juma Duni Haji (DP)
Kigambibwa abalonzi bali mu bukadde 30 – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=4s

