Bannakibiina ki Forum for Democratic Change (FDC) balabudde Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu, okukomya ku bantu be, nga singa tebeddako, zigenda kudda okunywa.

Bano, nga bakulembeddwamu akulembeddemu ekibiina okuvuganya ku bukulembeze bw’eggwanga Nathan James Nandala Mafabi, agamba nti bakooye ejjoogo lya NUP, okubakola effujjo.

Mafabi, agamba nti mu kusooka nga bali e Masindi balumbibwa ne basirika, olunnaku olw’eggulo balumbiddwa ne bakuba abawagizi baabwe ne mmotoka zaabwe nga n’abamu, ku bannakibiina ki FDC bakyali malwaliro.

Ng’omuntu eyeegwanyiza obukulembeze bw’eggwanga lino, Mafabi agamba nti ekimala kimala, bbo nga aba FDC tebanywa njaga, aba NUP bakomye okulowooza nti okunywa enjaga, balina kubakolako effujjo.

Alangiridde nti omuntu yenna addamu okubalumba, alina okugya ng’alamye.

Okulabula, abadde mu kibuga Mbale, bw’abadde  agenda mu bitundu bye Busia ne Tororo, okwongera okunoonya akalulu – https://www.youtube.com/watch?v=4IjJyDLw9aU&t=1s