Ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni alaze lwaki talina kutya kwonna, agenda kuddamu okuwangula obwa Pulezidenti mu kulonda kwa 15, January, 2026.
Museveni olunnaku olw’eggulo yabadde mu bitundu bye Bukedea ne Sironko.
Museveni agamba nti bingi ebikoleddwa NRM omuli
- Okunyweza ebyokwerinda
- Ebyenfuna
- Okulwanyisa obwavu
- Okukola ku nsonga y’ebbula ly’emirimu
- Okukola enguudo
- Okuzimba amalwaliro n’ebirala.
Agamba nti bannayuganda bagenda kusinzira kwebyo ebikoleddwa, okudda okwesiga ekibiina ki NRM okuviira ddala waggulu ku bwa Pulezidenti.








Bingi ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=rdT6EPPYQ8k