Yaliko Nnalulungi wa Uganda Dorah Mwima abikudde ekyama nti omugenzi Moses Ssekibogo eyali amanyikiddwa nga Mowzey Radio ya taata w’omwana we asooka Ethan Jabari Mubarak.

Mwima agamba nti yazaala Ethan nga 2, April, 2010 era omugenzi Radio yali akimanyi bulungi nti alina omwana wuuwe.

Omwana omulenzi Ethan
Omwana omulenzi Ethan

Tekimanyiddwa lwaki omuwala Dorah Mwima avuddeyo mu kiseera kino okulangirira nti alina omwana w’omugenzi Radio.
Mu kiseera kino, kizibu okutegeera omuwendo omutuufu ogw’abaana b’omugenzi.