Bya Zainab Ali
Okusinzira ku ntekateeka okuva mu b’oluganda lw’omugenzi Polof Apolo Robin Nsibambi, bakuziika sabiti ajja ku Lwokubiri nga 4, omwezi ogujja Ogw’omukaaga ku ssaawa 10 ezakawungeezi e Buloba ku luguudo lwe Mityana, oluvanyuma lw’okusabira omwoyo gwe, mu Lutikko e Namirembe.

Mu kiseera kino, Famire ekyalinda Gavumenti okwasiza awamu mu ntekateeka zonna ez’okuziika wabwe mu kitiibwa ng’omukulembeze bw’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni bwe yalangiridde.
Mu kiseera kino omulambo, gukyakumibwa mu maka ga A Plus e Mmengo oluvanyuma olw’okugibwa mu ddwaaliro e Mmengo ekiro.

Abamu ku bakungubazi abakedde okubuuza ku famire y’omugenzi mu maka, kyaalo Bulange mu Divizoni y’e Rubaga mwe muli amyuka omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi, Minisita w”ebyensimbi, Matia Kasaija era bafunye akadde ak’enjawulo ne Namwandu Easter Nsibambi n’okuteeka omukono mu kitabo kya bakungubazi.
Omugenzi Nsibambi abadde atawanyizibwa ekirwadde kya Kkookolo w’obusajja okutuusa lw’afudde.
Namwandu Easter agamba nti bba Prof Nsibambi yafudde mu ngeri ya kimpowooze ddala kuba yafiiridde waka, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo.