Kyaddaki Taata wa Patrick Ssenyonjo amanyikiddwa nga Fresh Kid myaka 7, Paul Mutabaazi avuddeyo ku bigambibwa nti yagobye manejja wa mutabani we Francis Kamoga.
Okuva sabiti ewedde, ebigambo ebizze biyitingana nga Francis bwe yagobeddwa era mbu Mutabaazi yedizza obuvunaanyizibwa okutumbula talenti ya mutabani we.
Olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu, Fresh Kid yatandiise okusoma ku Kampala Parents oluvanyuma lw’okufuna sikaala okuva mu Ruparelia Foundation.
Wabula Taata Mutabaazi agamba nti ali n’omwana mu kiseera kino e Naguru kuba alina okusoma ate alina okuva okumpi n’essomero.

Mungeri y’emu agambye nti embeera yasigadde nga bwebadde, Manejja Francis okukola omulimu gwe wabula mu kiseera kino yamulina kuba alina okusoma naye eby’okuyimba tewali kyakyuse.
Ebigambo bya Taata biraga nti Francis akyali amanejja wa Fresh Kid.
Eddoboozi lya Taata