Bya Nalule Aminah

Omu ku basimatuse okuttibwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ng’abatemu balumbye, edduuka eritunda ebizimbisibwa erya Cheap Hardware mu katawuni k’e Nansana mu disitulikiti ya Wakiso afiiridde mu ddwaaliro ekkulu e Mulago enkya ya leero.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, Bugembe Amin yafunye ebisago ebyamannyi, ekivuddeko okufa kwe wadde ng’abasawo, bagezezaako okutaakiriza obulamu.

Okufa kwa Bugembe, kuwezezza omuwendo gw’abantu basatu (3) abaakafa oluvanyuma lwa Atikuru Jimmy eyabadde amyuka Manejja ne Frank Mutsinda, okufiirawo olunnaku olw’eggulo olwa masasi agabakubiddwa abatemu ne batwala ssente ezitamanyiddwa muwendo nga bali ku pikipiki.

Onyango agamba nti Poliisi ekutte abantu basatu (3), bagiyambeko mu kunoonyereza kyokka agaanye okwatukiriza amannya gaabwe.