Kyaddaki Frank Gashumba owa Sisimuka Uganda avuddemu omwasi ku nsonga za muwala we Sheilah Gashumba ali mu laavu mu kiseera kino ne Marcus amanyikiddwa nga God’s Plan.
Gashumba musajja muzadde wadde mu kiseera kino talina mukyala amanyikiddwa kyokka yegulidde erinnya olw’engeri gy’awa bannayuganda amagezi ku nsonga ez’enjawulo.

Gashumba asobodde okuwa abaana abawala amagezi obutagwa ddalu lwa laavu kuba ebintu by’omukwano sibyangu era abantu bangi besse oluvanyuma lwa laavu okugwawo.
Agamba nti omwana omuwala alina okusoma kuba laavu essaawa yonna eyinza eggwawo kyokka obuyigirize tewali muntu yenna ayinza kubutwala.
Ebigambo bya Gashumba, Sheilah alina okubyeyambisa ennyo wadde ali mu laavu ne God’s Plan kuba eriiso ly’omukulu, awaddugala we walaba, kitaawe yaliko mu laavu.
Eddoboozi lya Gashumba