Bba wa Rema Namakula, Dr Hamza Ssebunya ali mu kweteekateeka kuba essaawa yonna kabite we akomawo okuva mu ggwanga erya Turkey ne Buyindi.
Rema asuubirwa okudda olunnaku olwaleero ku lwomukaaga okuva mu nsi ezo, gy’abadde yagenze okufuna eby’okwambala ku mukolo gwe ogw’okwanjula nga 14, November, 2019.
Okusinzira ku Hajji Musoke ssentebbe w’olukiiko olutekateeka omukolo, Rema abadde alina okugula ebintu eby’enjawulo okuva ebweru omuli engoye za ba kojja, Ssenga, ba maama, ba taata, bajjajja era byonna byaguliddwa dda.
Mu kiseera kino Dr Hamza ali mu kwetekateeka kuba mu maka gaabwe akoze enteekateeka ey’enjawulo okwaniriza kabite we Rema mu kitiibwa era ataddewo ekiwempe ekimyufu ekikoleddwa mu bimuli ebimyufu ekiteereddwa mu luggya okutuukira ddala mu nnyumba Rema kw’agenda okutambulira nga gye kisembera kuwandiikiddwako erinnya lya Rema, ekintu ekiraga omukwano.