Mu nsi, buli muntu alinako omuntu omulala gwe yegoomba okusisinkanako mu bulamu bwe era embeera eyo, etuukiridde bulungi ku mukyala eyakaabye oluvanyuma lw’okulaba ku muyimbi Diamond Platnumz myaka 29 okuva mu ggwanga erya Tanzania.
Mu East Africa, Platnumz y’omu ku bayimbi abakutteyo ennaku zino era asobodde okweyambisa ekitone kye, okufuna abakyala ab’enjawulo n’okutabaala ensi ez’enjawulo.

Bwe yabadde mu ggwanga erya Germany, yasangirizza omukyala omu ku bawagizi be era mu ngeri y’okulaga nti y’omu ku bantu babadde yegoomba okusisinkanako, yagudde mu kafuba ke oluvanyuma n’atulika n’akaaba olw’essanyu.

Mu kiseera kino mukyala wa Platnumz, Tanasha Donna yakazaala omwana kyokka bba okutambula mu mawanga ag’enjawulo awali ebyana ebinyirira nga bisikiriza, ali mu kweralikirira kuba Platnumz asobola bulungi nnyo okufuna omukyala omulala okwesanyusa mu kaboozi kuba mukyala we akyali Nakawere.