Poliisi y’e Gulu ekutte abantu 5 ku by’okusangibwa n’amasanga g’enjovu, Kilo 400.
Abakwattiddwa okuli Juma Nasuru, Cosmas Apuke, Moses Kakama, Christopher Wamala ne Vincent Kamya batwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Gulu ku misango gy’okusangibwa n’ebintu by’omu nsiko.
Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Aswa, Patrick Jimmy Okema, agambye nti abakwate bagiddwa mu bitundu bye Amuru eby’enjawulo era kigambibwa baludde nga benyigira mu kutta enjovu okusobola okutwala amasanga.
Amasanga gali ku kitebe kya Poliisi e Gulu. Mu Uganda, kimanyiddwa nti mu disitulikiti y’e Amuru waliyo Murchison Falls National Game Park, awasangibwa enjovu era kigambibwa abantu bangi benyigidde mu kuzitta olwa masanga.