Oluvanyuma lw’omuyimbi Rema Namakula okwanjula bba Dr. Hamzah Ssebunya mu bazadde sabiti ewedde ku Lwokuna e Nabbingo ku lwe Masaka, mu kiseera kino bangi ku bannayuganda bakyebuuza omuwendo gwa ssente ezasaasaanyiziddwa ku mukolo.

Okusinzira ku mukwano gwa Rema ataagadde kwatuukiriza mannya ge, omukolo gwagenzeemu obukadde obusukka mu 700 kuba Rema yabadde yetaaga ebintu nga bya bbeeyi okulaga nti bba alina ssente.

Mungeri y’emu agambye nti waliwo ebintu ebyasinze okutwala ssente okuli okulya n’okunywa, Ebyambalo by’omugole omusajja n’omukyala, Kkeeki kuba Rema yagabidde abagenyi be abasukka 10 n’okutimba.

Ku by’okunywa, abagenyi banywedde ebintu eby’enjawulo omuli amazzi, sooda, juyisi okuva mu kkampuni ya Dalausi juice (ekidomola kya liita 20 ekya juice kiri ku mitwalo 25) ssaako ne caayi.

Mukwano gwa Rema agamba nti omukolo gwabaddeko abantu abasukka mu 1,500 era bonna akawungeezi baaweereddwa omucomo n’enkoko akawungeezi.