MC Kats atabukidde abayimbi nti agenda kubesonyiwa kuba basukkiridde okweraga mu bulamu bwa buligyo.
Mc Kats y’omu ku bannamawulire abakoze ebintu eby’enjawulo okuwagira ekisaawe ky’okuyimba era y’omu ku bantu abebuzibwako abayimbi wadde si muyimbi.
Agamba nti, “abayimbi ngenda ku bakoowamu, mulina olugezigezi ate temulina ssente, omuyimbi aba ne miriyoni 10 ku akawunti n’opangisa enju ya miriyoni 2 n’ogamba laba omutwe gw’ono, temulina ssente ate gweraga, abantu balina ssente, abantu balina biriyoni’s of money ku akawunti zaabwe ate mweraga, n’ogulayo kawundo ng’eno n’olowooza okikubye ekimazeeyo, this is only 30m shs, osobola okugifuna mu Second Hand“.
MC Kats mu kiseera kino akola ku NBS mu Pulogulamu After 5 kyokka okuva mu December omwaka oguwedde ogwa 2019 n’okutuusa olunnaku olwa leero, abadde nnyo mu mawulire oluvanyuma lw’okulangirira nti alina akawuka akaleeta mukenenya.
Vidiyo ya MC Kats