Avunaanyizibwa ku by’ensimbi mu maka g’Obwapulezidenti n’emirimu, Lucy Nakyobe alangiridde nti omuyimbi Catherine Kusasira ne Mark Bugembe amanyikiddwa nga Butcherman tebamanyiddwa mu State House.
Nakyobe agamba nti tanafuna kiwandiiko kyonna okuva eri Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ekiraga nti Kusasira ne Butcherman bawabuzi be ku nsonga ez’enjawulo.

Museveni bwe yali ayogerako eri abavubuka mu bitundu bya Ghetto e Katwe, Kusaasira yaweebwa ekifo ky’okuwabula Pulezidenti Museveni ku nsonga za Kampala ate Butcherman ku nsonga za Ghetto.
Wabula Nakyobe agamba nti Kusaasira ne Butcherman tebalina kufuna musaala gwa Gavumenti kuba tebanafuna bbaluwa ziraga nti bakozi ba Pulezidenti Museveni.

Ate ku muyimbi Jennifer Full Figure, Nakyobe agambye nti ye muwagizi wa NRM era yaweereddwa omulimu gw’okukuunga bannakibiina kya NRM bonna mu ggwanga wabula tabangako buwabuzi wa Pulezidenti Museveni.
Nakyobe abadde mu kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku nsonga z’obwa Pulezidenti okwanjula bajjeti y’omu maka g’obwa Pulezidenti mu mwaka gwa 2020 – 2021. Agamba nti betaaga biriyoni 677 kyokka minisitule y’ebyensimbi yabadde esuubiza okuwa biriyoni 262.