Ekifaananyi ky’omuyimbi Lydia Jazmine ne Fik Fameica kitabudde abantu ab’enjawulo n’okusingira ddala abawagizi baabwe.

Jazmine ne Fik balina oluyimba olupya ‘Muko‘ era asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okulaga nti vidiyo yafulumye dda kyokka abawagizi baabwe bagamba nti bali mu laavu wadde beerimbise mu kufulumya oluyimba.

Ku mukutu gwe gumu, waliwo abawagizi ba Jazmine abagamba nti ye ne Fik bali mu laavu era bbo balinze omwana.
Wabula waliwo omuwala shery llaric alaze nti ye mwetegefu okutwala Fik singa Jazmine azanyira mu nsonga era agambye nti, “Hey a u guys actually dating or“.