Kyaddaki Ssenga Kawomera alaze ebiyinza okuvaako ebitundu by’ekyama okufunda oba okugaziwa nga kivudde ku ntuula y’omukyala yenna.

Ssenga Kawomera agamba nti waliwo abakyala abatuula nga beeyanjadde ennaku zino kyokka balina okukikomya. Agamba nti ssi kirungi kuba omuwala yenna aggwaamu akawoowo.

Ate waliwo abatuula nga basibye amagulu kyokka Ssenga Kawomera agamba nti kiziyiza ebbugumu okufuluma, ekiyinza okuvaamu obukyala okuvaamu akasu.

Mungeri y’emu waliwo entuula y’okwekiika. Ssenga Kawomera agamba nti entuula eno, omukyala yenna atuula ng’okugulu okumu akutadde waggulu w’okulala. Entuula bwetyo, evaako amagumba g’omu mbiriizi okwekiika ekivaako okwesiba kw’ebinywa.

Ssenga Kawomera era agamba nti waliwo entuula y’okusalako era agamba nti entuula bwetyo ebuza obwagazi mu bakyala. Agamba nti kikyamu nnyo okunyigiriza ebitundu by’ekyama kuba singa onoonya obwagazi mu kiseera ky’okwegatta, buyinza okubula.

Mu nsi y’omukwano, singa omukyala yenna alemwa okuwa omusajja essanyu mu kaboozi, kiyinza okuvaako okulwanagana n’okwawukana.