Mu nsi y’omukwano, buli muntu yenna alina okwesiga munne, okusobola okunyumirwa obulamu n’okufuna ku ssanyu lwa laavu era y’emu ku nsonga lwaki buli muntu alina okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe, omukwano okuwangala.

Wosomera bino, waliwo omusajja asobeddwa, oluvanyuma lw’okusanga muganzi we ng’ali mu kusinda mukwano ne mukwano gwe era agamba nti kimukoseza nnyo.

Omusajja alaga nti abadde aweerera kabiite we ku yunivasite kyokka okumwendako, asigadde n’ebiwundu ku mutima.

Mu bigambo bye, alaga nti abadde afuna amawulire nti muganzi we mwenzi ng’abiwakanya okutuusa lw’amwekwatidde lubona ng’ali mu kaboozi ku muti gwa waaya waggulu.

Mu nsi eno, buli muntu mwezi mu ngeri ye, kyokka Ssenga Kawomera agamba nti buli muntu alina ensonga ez’enjawulo lwaki ayinza okwenda omuli abanoonya ssente okwebezaawo, okufuna omusajja oba omukyala ng’amalako mu nsonga z’omu kisenge n’ensonga endala.