Poliisi ya Flying Squad ezudde pikipiki 7 ezabibwa, mu kikwekweeto ekikoleddwa mu bitundu bya West Nile.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, Josephine Angucia ekikwekweeto kyakoleddwa oluvanyuma lwa Poliisi y’e Dokolo okufuna omusango gw’okubba pikipiki endala namba UEZ 231M sabiti ewedde ku Lwokutaano.

Angucia agamba nti okuva sabiti ewedde okutuusa olunnaku olweggulo ku Lwokusatu, mu kikwekweeto, pikipiki 7 zizuuliddwa ssaako ne namba za pikipiki 42.

Emu ku Pikipiki, yasaangiddwa mu nju y’omutuuze Ronald Eriku ku kyalo Kasua mu ggombolola y’e Pajulu mu disitulikiti y’e Arua.

Mu nnyumba y’emu, mwasangiddwamu ennamba za pikipiki 14 ne sipeeya wa pikipiki enkadde.

Mu kikwekweeto, abantu 5 baakwattiddwa ku misango gy’obubbi, era okunoonyereza kwatandikiddewo.

Angucia agamba nti bangi ku bodaboda battiddwa, pikipiki ne zitwalibwa kyokka byonna Poliisi atandiise okubinoonyerezaako.

Eddoboozi lya Angucia 

 

Ebifaananyi bya PML Daily