Eyali yegwanyiza obukulembeze w’eggwanga lino Gen.Benon Biraaro afudde.
Getwakafuna, galaga nti Biraaro afiiridde mu ddwaaliro lya Kampala Hospital nga zigenda mu ssaawa 7 ez’emisana.
Okusinzira ku famire y’omugenzi, abadde atawanyizibwa obulwadde bwa kkansa w’ekyenda era abadde mu ntekateeka okumutwala ebweru w’eggwanga okufuna ku bujanjabi obusingawo.
Gen Biraaro y’omu ku bantu omunaana (8) abavuganya ku bukulembeze bw’eggwanga lino mu kulonda kwa 2016 okusigukulula ssentebbe w’ekibiina kya NRM Yoweri Kaguta Museveni era yamalira mu kyakutaano (5) n’obululu 15,588 era afiiridde ku myaka 61.
Okuvuganya, yali mu kibiina kya Farmers Party of Uganda era y’omu kwabo abasiinga okusosowaza ensonga y’obulimi.
