Omukyala Zari Hassan yabadde mu kifo ekimu ekisanyukirwamu kyokka buli lunnaku alaga nti ayongera kudda buto.
Zari bwe yabadde agenze okuwuga, yalese abazungu basabbaladde bwe yalaze nti ddala alina ffiga emala okuvuganya n’abazungu.

Omu ku bazungu omusajja yakutte ku mutwe nga yewuunya obulungi bwa Zari kuba omwana yalaze nti yatuukirira mu byonna.

Zari y’omu ku bakyala mu East Africa abategeera okulya obulamu ate abeekuumidde ku mutindo ku myaka gye 39.
Mukyala muzadde, alina abaana 5 kyokka mu kiseera kino talina musajja amanyikiddwa mu butongole.
Omwaka oguwedde ogwa 2019 mu September nga 27, yaliko mu kibuga Dubai, United Arab Emirates era yavaayo nga bangi ku basajja bakirizza nti Uganda erina abakyala abanyirivu.