Poliisi ekutte omutemu eyakuba amasasi agatta Sheikh Masuudi Mutumba myaka 63 mu disitulikiti y’e Bugiri sabiti ewedde ku Lwokutaano ku lunnaku lwa Valentayine.
Poliisi ya Flying Squad omutemu emukwatidde mu Divizoni y’e Rubaga mu disitulikiti y’e Kampala.
Okusinzira ku Anatoli Katungwesi, addumira Poliisi mu bitundu bya Busoga East, omutemu akwattiddwa oluvanyuma lw’abasibe abasooka okukwattibwa, okubategeeza Omutemu, eyabayambako okutta Sheikh Mutumba.

Omutemu, y’omu ku bakulu mu kitongole ky’obwanannyini ekikuumi ekya SGA mu Kampala era kigambibwa olw’okuba nti mukulu, kyamwanguyira okufuna emmundu okutta Sheikh Mutumba.

Katungwesi agamba nti emmundu eyakozesebwa okutta Sheikh Mutumba tennazuulibwa wabula okunoonyereza kukyagenda mu maaso.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti abatta Sheikh Mutumba, Imaam w’omuzikiti gw’e Iwemba e Bugiri baasooka kutuula mu kafubo okulaba engeri gye bajja okumuttamu n’olunaku olw’okutuukiriza olukwe luno.
Enanga yagambye nti Sheikh Mutumba abadde mu nkaayana z’ettaka ne bamulekwa ba muganda we, omugenzi Sowedi Mugoya era babadde mu kkooti.
Mu kkooti e Bugiri yasooka n’abawangula ne bajulira mu kkooti enkulu e Jinja nga kati baabadde balindiridde nsala nga 20, Febwali, 2020.

Enanga era yagambye nti ku Lwokutaano, abasajja abaali ku boodabooda baagenze mu maka ga Mutumba ku kyalo Busimba era omu ku bo n’amuyita okuva mu maka ge. Sheikh Mutumba okufuluma okuva mu nnyumba ye omuntu eyamuyise yabadde amumanyi era wano omuzigu we yamukubidde amasasi agaamuttirawo.