Poliisi y’e Kabale ekutte abantu basatu (3) ku by’okutambuza walagi.

Abakwattiddwa basangiddwa nga bali ku ppikipiki 3 okuva mu disitulikiti y’e Mitoma okudda mu disitulikiti y’e Kabale n’ebidomola 24 ebya walagi.

Abakwate kuliko Kabegambire Obedi myaka 25, Nturanabo Gerivazi myaka 27 ne Musinguzi Habert 29 nga bonna batuuze ku kyalo Kabale two mu ggombolola y’e Karimbe mu disitulikiti y’e Mitoma.

Ate Ppikipiki nga zonna kika kya bajaj boxer kuliko UFA 044N, UEL 210G ne UES 051P.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate, okunoonyereza kutandiise okuzuula gye baabadde batwala omwenge kuba kigambibwa balina ebbaala enzigule gye basinzira okutunda omwenge mu kiseera kino, ekintu ekimenya amateeka oluvanyuma lw’omukulembeze w’eggwanga okuggala ebbaala zonna mu ggwanga ng’emu ku ngeri y’okutangira Kolona okusasaana.