Omusajja munnansi wa German Bernhard Glanser Berry afiiridde mu kkomera e Luzira enkya ya leero ku ssaawa nga 2 ez’okumakya.
Bernhard abadde ku limanda okuva 2019 ku misango 19 egy’okukusa abaana n’emisango 5 egy’okusobya ku baana abato.
Okusinzira ku ludda oluwaabi, Bernhard nga yabadde ssenkulu w’ekibiina ky’obwannakyewa ekya Ssese Humanitarian Service ku kizinga kye Mwena mu disitulikiti y’e Kalangala, yasobya ku baana beyali ateekeddwa okulabirira, okubakukusa n’ okubakuumira mu kiyumba, ekitakkirizibwa mu mateeka.

Kigambibwa emisango yagizza wakati wa 2007 ne 2013.
Akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu, Omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Moses Kazibwe yamukkiriza okweyimirirwa ku bukadde 30 ez’obuliwo, asobole okuddukira mu ggwanga erya Belgium okufuna obujanjabi wabula ssente zaamulemeredde, nazibwa ku limanda mu kkomera e Luzira.
Okusinzira ku mwogezi w’ekitongole ky’amakkomera Frank Baine, Bernhard abadde namba 248 era afudde Kansa w’olususu.
Agamba nti Omulambo gutwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago oluvanyuma gukwasibwe ekitebe kya Germany mu Uganda.